Abasawo mu ggwanga erya America batandiise okujanjaba omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Okusinzira ku mukulu wa Bobi Wine, Fred Nyanzi amanyikiddwa nga Chairman Nyanzi ebyavudde mu musaayi n’ebikwata ku bitundu by’omubiri ebirala okugeza ng’ensigo tebinnaba kufulumizibwa nga mu kiseera kino bakyalinda ebinaavaayo.
Chairman Nyanzi agamba nti mu kiseera kino, abasawo batandiise okujanjaba biwundu ebyamutusibwako, amagumba n’ebinywa ebyakosebwa.
Mungeri y’emu yagambye nti ku Lwokubiri nga 4, September, 2018, abasawo nga beeyambisa tekinologiya owoomulembe, baakoze ku magumba g’omu kiwato ekimu ku bitundu by’abadde asinga okukaaba obulumi ennyo kyoka mu kiseera kino embeera Bobi Wine gy’alimu teyeeraliikiriza wadde akyalumizibwa.

Bobi Wine okusalawo okugenda mu ggwanga Amerika okujjanjabibwa, kyaddiridde obuvune obwamutuusibwako bwe yali akwatibwa amaggye nga 13, August, 2018 mu kalulu k’okulonda omubaka w’ekibuga Arua.
Kigambibwa Bobi ne banne bakuba amayinja emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ekyavirako emu ku mmotoka okubwa ndabirwamu neyiika era bonna 34 bagulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe.