Mu Uganda, abavubuka bangi benyigidde mu kunywa ebiragalaragala omuli enjaga, amafuta g’ennyonyi, amayirungi n’ebirala nga kivudde ku nsonga ezenjawulo.

Mu Kampala n’okusingira ddala mu Kisenyi, bangi ku batuuze banywa ebiragalaragala oluvanyuma ne benyigira mu kumenya amateeka omuli okubba, okukwata abaana, okusobya ku bakyala, okubba, okukwata ensolo n’emisango emirala.

Poliisi esobodde okukola kyona ekisoboka okukendeza ebiragalaragala mu bavubuka kyoka ekyalemeddwa okukitukiriza.

Embeera eyo, ewaliriza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo okuyamba abavubuka okwesonyiwa ebiragalaragala mu ggwanga lyona.

Museveni bw’abadde ayogera ku mbeera eri mu ggwanga mu kiro ekikeseza olw’aleero mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, agambye nti bagenda kuzimba ekifo ekibudabuda abavubuka abanywa ebiragalaragala mu Kampala okubayamba okubyesonyiwa.

Agamba nti ebbula ly’emirimu mu ggwang y’emu ku nsonga lwaki abavubuka bangi nnyo benyigidde mu kunywa ebintu byo kyoka Gavumenti evuddeyo okuwa abavubuka ssente z’entandikwa n’okubayigiriza emirimu gy’omutwe okusobola okufuna ssente okwebezaawo n’okwesonyiwa ebikolwa ebikyamu.