Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Museveni abikudde ekyama nga bw’agenda okukomyawo enkola eyali mu bitundu bye Luweero okulwanyisa abatujju mu bitundu bya Kampala n’emirirwano.

Museveni bw’abadde ayogera ku mbeera eri mu ggwanga mu kiro ekikeseza olw’aleero mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, agambye nti bagenda kuwandiisa aba LDU, 24,000 mu bitundu bya Kampala ne Wakiso, baweebwa n’emmundu bayambeko mu kunyweza ebyokwerinda era bassentebe ba LC bagenda kuyambako okusunsulamu abantu abalungi era abatuufu abagwanidde, okutambuza omulimu gwo.

Abamu ku bavubuka nga bakutte emmundu mu 2016
Abamu ku bavubuka nga bakutte emmundu mu 2016

Pulezidenti Museveni agamba nti “Nsazeewo okussaawo abaserikale ba LDU 24,000 okuyambako okulawuna mu bitundu bya Kampala, Wakiso n’emiraano. Kino kijja kutwala omwaka okussibwa mu nkola okutuusa nga kamera zimaze okussibwa ku nguudo. Bakalittima abazze batemula abantu baffe okuli; Joan Kagezi, Andrew Felix Kaweesi, Bamaseeka, Abiriga wamu ne Kirumira gwe bakyasembyeyo okutta waliwo abakwatiddwa ne baggalira. Tugenda kulwanyisa obutemu bw’ekikula kino tubulinnye ku nfette. Obuzibu abatemu bano bakolera mu bibuga era tusanze akaseera akazibu kuba obukodyo bwaffe bwe tuzze tukozesa okulwanira mu byalo twesanze nga bibuga tebukola wadde nga abo bonna abaatwepampalikako mu byalo okuli abayeekera ba ADF n’abalala twabawangula. Abasse Kirumira beeyambisizza pikipiki ne bamala ne badduka. Nnatuusewo era bangambye abamu ku ba bodaboda baagezezzako okugobagana n’abatemu kyokka ne bababulako. Kamera zitandise okusimbibwa ku nguudo naddala mu bibuga okulwanyisa abazigu”.

Agamba Kamera zigenda kuyamba nnyo okutebenkeza eggwanga kyoka aba LDU bagenda kutambuza emirimu gyabwe wansi w’ekitongola ekya Poliisi.