Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannabyabufuzi abakola effujjo nga balowooza nti abazungu bagenda kubayamba.
Museveni bw’abadde ayogera ku mbeera eri mu ggwanga mu kiro ekikeseza olw’aleero mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, agambye nti “bannabyabufuzi abalina empisa ensiwuufu abali ku misango gy’obutujju, abatuusa obuvune ku bantu, bateekeddwa okukolebwako mu ngeri y’amateeka. Poliisi ne kkooti teziteekeddwa kukiriza bannabyabufuzi abakyamu okutisatiisa abantu”.
Mungeri y’emu agambye nti “okulimba abazungu tekigenda kubayamba kuba amazima bagalina”.
Mu kiseera kino omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ali mu ggwanga erya America okufuna obujanjabi kubigambibwa nti yatulugunyizibwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018.

Bobi Wine yegattiddwako abazungu okuyamba okukyusa embeera eri mu ggwanga lino Uganda ey’okutulugunya abantu omuli ababaka ba Paalamenti era munnamateeka we Robert Amsterdam yakulembeddemu.