Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni afunvubidde okulwanyisa obuli bw’enguzi obweyongedde mu bakungu ba Gavumenti.
Museveni agamba nti enguzi eviriddeko pulogulamu za Gavumenti okutambula akasoobo olwa ssente ezibibwa.
Mukulu Museveni bw’abadde ayogera ku mbeera eri mu ggwanga mu kiro ekikeseza olw’aleero mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, asabya bannayuganda bonna okuvaayo okulwanyisa abantu bonna abanyaga ssente z’eggwanga mu bitongole ebyenjawulo kuba balemeseza Gavumenti okutuusa obuwereza obulungi ku bantu.
Pulezidenti erangiridde enamba z’essimu bbiri abantu zebasobola okweyambisa okulopa abali b’enguzi mu ggwanga omuli 0800 100 770 esangibwa mu woofisi ye oba Maj Edith Nakalema 0772634743.
Mu Uganda abangi ku bakungu ba Gavumenti basindikiddwa e Luzira lwa nguzi.