Abamu ku bayizi ku yunivaasite y’e Makerere bakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky’okulinyisa ssente za School Fees ebitundu 15 ku buli 100.

Yunivaasite yayongeza ssente kuba bazetaaga okulongoosa entambuza y’emirimu omuli eddwaaliro lya yunivaasite n’ebintu ebirala.

Wabula abamu ku bayizi bagamba nti mu kwongeza ssente tebeebuzibwako era kigenderedwamu okulemesa abantu bawaansi okusomesa abaana babwe.

Mu kwekalakaasa, poliisi eyitiddwa okutebenkeza embeera era abamu ku bayizi bakwattiddwa era batwaliddwa ku Poliisi ezenjawulo.

Linda ebisingawo.