Ekivvulu ekya MTN Nyege Nyege ekyabadde e Jinja kyasombodde abadigize okuva mu nsi yonna era banyumiddwa obulamu.
Byanabiwala ebyamyuka ebithambi ng’amatungulu byetiriboosezza emibiri ng’ebiwendule era abasajja bangi nnyo obwedda baliisa maaso.

Banywedde ebika by’omwenge ebyenjawulo, abasajja obwedda balemeddeko bagala kaboozi era bangi balabiddwako nga bawanyisiganya enamba z’essimu.

Ekivvulu ekyakulungudde ennaku 4, abazungu babadde bangi ddala era balidde eswagga.














