Gavumenti erangiridde sabiti eno ku Lwokuna nga 13, September, 2018, okugulawo eddwaaliro erijanjaba endwadde enkambwe ezitigomya abakyala mu ggwanga lino.

Eddwaaliro lizimbiddwa ku ddwaaliro ekkulu e Mulago ku mutindo gw’ensi yonna.

Ekyama ekyo, kirangiriddwa Minisita avunanyizibwa ku byamawulire Frank Kagyigyi Tumwebaze mu kwogera kwe eri bannamawulire ku Medie Center mu Kampala enkya ya leero era akakasiza nti eddwaaliro ligenda kuyambira ddala okulwanyisa endwadde mpitirivu nnyo.

Minisita Tumwebaze era agambye nti ku Lwokuna, ssaabaminisita Ruhakana Rugunda agenda kulemberamu baminisita bonna okulambula n’okwekeneenya eddwaaliro erizimbiddwa.