Famire y’abantu 7 bajjiiridde mu nnyumba mu kiro ekikeseza olwaleero.

Ekiyongobero kibadde ku kyalo Amutur mu disitulikiti y’e Bukedea.

Abafudde kubadde taata John Okoboi myaka 34, mukyala we Florence Ajimo, muganda we Dinah Kayaye n’abaana 4 okuli Anna Adongo, Charles Okwalinga, Joy Apolot ne Alfred Okidi, bonna wakati w’emyaka 2 ku 6.

Kigambibwa, omuliro gwavudde ku sigiri eyayingiziddwa mu nnyumba ng’eriko ate nga mulimu ebidomola bya petulooli.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kyoga, Michael Odongo agambye nti abantu bonna bayidde nnyo era kati bisiriiza.