Abasawo mu ggwanga erya Amerika mu kibuga Washington DC bawadde omubaka we Kyaddondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ebiragiro ebikambwe byateekeddwa okutuukiriza asobole okutereera obulungi.
Okusinzira ku mukyala we Kyagulanyi Barbie Itungo, Bobi Wine bamugaanye okukwata amasimu, okwogera n’abaamawulire n’abantu ababadde bamukyalira baganiddwa.
Barbie agamba nti abasawo bamutegezeza nti bba eddagala ly’akozesa lya maanyi nnyo eryetaaga omuntu yenna okuwummula obulungi n’okunywa ennyo, okusobola okufuna amaanyi.

Mungeri y’emu agambye nti wadde Bobi Wine basobodde okumuwa obujanjabi, akyalina obulumi obw’amaanyi wansi w’ekiwato.
Agava mu ggwanga erya America, galaga nti Bobi Wine yayitiddwa ng’omwogezi omukulu ku Greenbelt Library nga 15, September, 2018, kyoka tekimanyiddwa oba abasawo banamukiriza okugenda.