Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Frances Abodo alangiridde nga 25, September, 2018 okuwa ensala ye oba Brian Isiko agibwako ekibonerezo eky’okusibwa emyaka ebbiri (2) oba okusigalawo.
Brian Isiko myaka 25, muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja, yasingisibwa emisango ebbiri (2) omuli okusindiika obubaka obukyamu eri omubaka omukyala owe Kabarole Sylvia Rwabwogo myaka 42.
Omubaka Rwabwogo yafuna obubaka obwenjawulo ku ssimu nga Brian Isiko amwepikira, nga bwali omukyala omulungi ennyo era amusaba amukirize bafuuke ab’omukwano kuba ky’ekirooto kye.
Wabula Isiko ng’akulembeddwamu munnamateeka we Ramathan Waiswa, yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya eky’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Gladys Kamasanyu okumusalira ekibonerezo ate ng’emisango gyonna egimuvunaanibwa yagyegaana.

Munnamateeka Waiswa ayagala kkooti ekibonerezo ekyawebwa omuntu we, okugibwawo wadde yakirizibwa okweyimirirwa okuddayo okutambuza emisomo gye.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joanita Tumwikirize bawakanyiza eky’okumugyako emisango kuba gyona yagikiriza nga tewali amukase.
Embeera eyo, ewaliriza omulamuzi Jane Frances Abodo okulangirira nga 25, September, 2018, okuwa ensala ye.