Gavumenti essaawa yonna efulumya elipoota kwebyo ebyali mu kivvulu kya Nyege Nyege, ekyaliwo sabiti ewedde okuva nga 6-9 September, 2018, okumala ennaku 4, ku Nile Discovery Resort beach mu ggoombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.
Ekivvulu, kyetabwamu abantu bangi ddala omuli abalambuzi okuva mawanga agenjawulo era byanabiwala ebyamyuka ng’amatungulu byetiriboosa nga byambadde obugoye bwa kokoonyo.

Kigambibwa, ekivvulu ekyo, kyetabwamu abantu abakyamu bangi ddala omuli abasasaanya obuseegu omuli ebisiyaga, okunywa enjaga n’ekigendererwa eky’okusanyawo eby’ennono n’obuwangwa mu ggwanga lino Uganda.
Wabula Minisita akwasisa empisa Rev Fr. Simon Lokodo, agambye nti ekivvulu kyona, abakugu basobodde okukyekeneenya lwaki kitegekebwa , biki ebikolebwayo era singa kizulibwa nti waliyo ebikolobero, tebayinza kuddamu kukikiriza kuteekebwateekebwa mu ggwanga lino.
Ebyali mu Nyege Nyege







