Abakwattiddwa kuliko Ernest Kakakumba ne Darius Rutaro era basangiddwa ku Clive road mu kibuga Jinja n’ebicupuli bya ssente okuli obwe 20,000 ne 50,000 eziri mu bukadde.

Kigambibwa abakwate, bavudde mu kibuga Kampala era balina ekibinja kinene ddala

Olukwatiddwa, batekeddwa ku Poliisi y’e Jinja, oluvanyuma abasirikale mu kitongole ekikeesi ekya ISO babagyewo okutwalibwa mu Kampala.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Diana Nandawula, agambye nti Poliisi ekyagenda mu maaso n’okuyiga abakyasigaddewo bonna bakwatibwe bavunaanibwe.