Ebyama bitandiise okuvaayo okuzuula abatemu abakulemberamu okutta ASP Muhammad Kirumira sabiti ewedde ku Lwomukaaga nga 8, September, 2018.

Mu Uganda, bantu bonna okuvira ddala ku mukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bakyebuuza baani abatta abantu era lwaki battibwa?

Kigambibwa, abatemu abenyigidde mu kutemula abantu, batambulira ku Pikipiki era y’emu ku nsonga lwaki Poliisi efunvubidde okuwandiisa pikipiki zonna mu ggwanga lino.

Wabula enkya ya leero, olupapula lwa Gavumenti lukakasiza nti abatemu abatta Kirumira bali ku pikipiki ya Poliisi, “Police Bike Used in Kirumira Murder”.