Poliisi y’e Kabale ekutte Ssemaka eyakutte ejjambiya, nasalako mukyala we omutwe n’okumutematema omubiri gwona era nafirawo.
Osbert Bakebwa omutuuze ku kyalo Kashanda mu ggoombolola y’e Kaharo mu disitulikiti y’e Kabale, atemera mu myaka 40, yakwatiddwa ku by’okutta mukyala we Gloria Katushabe.
Kigambibwa ssemaka Bakebwa yafunye obutakaanya ne mukyala we Katushabe ng’abali mu nnimiro olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, kwe kumutematema ebiso omubiri gwonna era omulambo gwe, gwasangiddwa mu kitaba ky’amusaayi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigenzi Elly Maate wadde Ssemaka Bakwebwa, yabadde yekwese mu nnyumba, Poliisi esobodde okumukwata okugiyambako mu kunoonyereza.
Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro lye Kabale okwekebejjebwa.