Omuyimbi Stecia Mayanja ayabulidde ekibiina kya Golden bandi nga kivudde ku njawukana n’obutakwatagana mu kibiina.
Agava mu kisaawe ky’okuyimba, Stecia Mayanja asazeewo kwegatta ku kibiina kya Kream Production ekya Hajji Haruna Mubiru Kitooke okutambuza omuziki.
Kigambibwa, Stecia okuva mu Golden bandi kivudde ku bakulu omuli Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja n’abalala kubayisaamu amaaso bwekituuka ku ssente n’ebivvulu.
Omuyimbi Stecia yeegasse ku bayimbi banne abavudde mu Golden Band omuli Charles Ssekyewa, Fred Sseremba n’abalala.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.