Gavumenti ekwasiddwa eddwaaliro ly’abakyala n’abaana mu butongole, erizimbiddwa aba kampuni ya Osman Ahmed Osman Constructions Company ku ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Omukolo gukulembeddwamu Ssaabaminisita wa Uganda Ruhakana Rugunda ne kabineenti ya Uganda yonna.
Ssaabaminisita Rugunda akubiriza abasawo abagenda okuwereza mu ddwaaliro erizimbiddwa okukuuma omutindo gwalyo.
Mungeri y’emu agambye nti eddwaaliro ligenda kukola ku nsonga z’ekikugu mu baana n’abakyala, erisokedde ddala okuzimbibwa mu East Africa.

Ate akulira eddwaaliro lye Mulago Dr Baterana Byarugaba, agambye nti abalwadde abamu bagenda kusasula okusobola okufuna ssente ezitambuza emirimu omuli okubawa emmere n’okukuuma omutindo gw’eddwaaliro.
Mungeri y’emu agambye nti buli mulwadde bagenda kumuwa engoye kuba ezabwe zisobola okutwala obukyafu mu ddwaaliro.

Ate Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng akakasiza nti ku ndwadde ezigenda okukolebwako mulimu okuyamba abafumbo abakyalemereddwa okufuna omwana nga kivudde ku nsonga ezenjawulo, okulongoosa kokoolo akwata ebitundu by’abakyaala, ebizibu mu mbuto z’abakyaala n’endala.
Mungeri y’emu agambye nti bafuna ebanja lya obukadde bwa ddoola bwa America 47 okuzimba eddwaaliro lya myaliro 7 era ku Mmande nga 17, September, 2018 litandika okujjanjaba abakyala n’abaana.



