Omuyimbi Weasel Manizo ayugumizza kirabu Amnesia mu Kampala mu kiro ekikeseza olwa leero.
Weasel atuuse ku Amnesia nga zikunukiriza ssaawa 6 ez’ekiro kyoka bwatandiise okuyimba, abadigize batandikiddewo okuwaga endulu nesanikira kirabu yonna.
Mu kuyimba, asobodde okuyimba ennyimba zonna omuli neezo ze bayimba n’omugenzi Mowzey Radio.
Weasel bwe yabadde ku siteegi, byanabiwala bimulwanidde okukwata ku kazindaalo (Microphone) okuyimba nabyo era apondoose nagiwaayo ekibawadde essannyu.











