Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awadde obukodyo obwenjawulo obugenda okuyambako okukendeza ebikolobero mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Museveni agamba nti okutebenkeza eggwanga, ebitongole ebikuuma eddembe byonna biteekeddwa okutumbula enkolagana n’abantu babuligyo.
Pulezidenti Museveni bw’abadde anyonyola eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’okusingira ddala mu bibuga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe mu kiro ekikeseza leero agambye nti “tusobola okumalawo ettemu eriviiriddeko abantu baffe bangi okufa. Ffenna tubeere bulindaala eri abantu abapya mu kitundu, pikipiki empya n’ebidduka by’oba weekengedde tegeeza ku poliisi”.

Ate ku basirikale agambye nti “abapoliisi bonna balina okubeera n’empuliziganya ebagatta bonna (so ssi masimu). Abapoliisi mukomye okukozesa amasimu okuwuliziganya, musaanidde okweyambisa ‘Radio call. Abaserikale basaanidde okukoma okunyooma abantu ababawa amawulire”.
Ku nsonga y’okutumbula empuliziganya wakati wa Poliisi n’abantu babuligyo, Pulezidenti Museveni agambye nti “buli poliisi mu ggwanga eri okubeera ne nnamba y’essimu etali yaakusasulira abantu kwesobola okukuba ne baloopa gwe baba beekengedde”.