Omuyimbi Fik Fameica ayongedde okulaga nti asajjakudde mu kisaawe ky’okuyimba era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda, y’omu ku bayimbi abatutumuse nnyo.

Fik amanyikiddwa ennyo olw’ennyimba ze omuli Gwe Abisobola, Property, Kachima, Byenyenya, Nze Nkuba, Mafia, Byenyenya n’endala era mu Uganda, y’omu ku bayimbi abalina obuwagizi mu bavubuka n’abaana abato.

Okuva sabiti ewedde abadde mu ggwanga erya Bungereza era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima abantu bonna abasobodde okumuwagira mu kivvulu ekyabadde mu kibuga London.