Poliisi etandiise okunoonyereza ekyavuddeko akabenje, akaviriddeko abantu 7 okufa ate 12, batwaliddwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka.
Akabenje kabadde ku kyalo Kimaatwe mu disitulikiti y’e Nakasongola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Okusinzira kw’aduumira Poliisi y’e Nakasongola, Kasumba Kiggundu, akabenje kabaddemu emmotooka 3 okuli Takisi namba UBC 068B, Tuleera namba UAP 262O n’ekimotoka ky’amafuta namba UAK 314N.
DPC Kasumba agamba nti okunoonyereza okusokerwako, kulaga nti akabenje kavudde ku Tuleela eyayingiridde Takisi bwe yabadde egezaako okuyisa ekimotoka ekitambuza amafuta.
Mungeri y’emu agambye nti emirambo, gyatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Masindi ate abafunye ebisango mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okufuna obujanjabi nga Poliisi bwenonyereza ekyavuddeko akabenje.