Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza, abazigu abalumbye abadde akwasaganya ssente mu dduuka eritunda emmere y’ebisolo erya Tinka Feeders e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ne bamukuba esasi mu kugulu.

Kigambibwa omukyala Cissy Namakula, yalumbibwa ku Mmande ku ssaawa nga 9 ez’olweggulo era abanyazi bali 4 nga bagala ssente zonna.

Namakula yagezaako okuwalira okuwaayo ensimbi, omu ku babbi, yagyayo emmundu mu jjaketi namukuba esasi mu kugulu ne bakwata ssente zonna era okugenda, batambula ku pikipiki.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, ababbi we bali bagenda, basaanga omukyala Sarah Namatovu eyakuba endulu ne bamukuba amasasi, naafa nga yakatusibwa mu ddwaaliro lye Kasangati okufuna obujanjabi.

Poliisi egamba nti wadde Namatovu yafudde, Namakula ali mu ddwaaliro e Kasangati afuna bujanjabi, bakyegenda mu maaso n’okumunoonya abatemu bakwatibwe n’okuzuula omuwendo gw’ensimbi ogwatwaliddwa.