Poliisi erabudde okukwata abantu bonna, abalemeddeko okugenda ku kisaawe Entebbe olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 20, September, 2018 okwaniriza omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Okusinzira ku bakulembeze mu kisinde ekya “People power” omuli Samuel Walter Mukaaku Lubega, Mike Mabiike n’abalala, Bobi Wine wakutuuka ku kisaawe Entebbe ku ssaawa 4 ez’okumakya era basabye abantu okuggya mu bungi okwaniriza omuntu wabwe n’okumulaga omukwano.

Bobi Wine ne Mukyala we Barbie
Bobi Wine ne Mukyala we Barbie

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti bbo nga Poliisi, bateekeddwa okukuuma obutebenkevu, okutangira abantu abagala okukyankalanya emirimu gy’abantu n’ebyentambula era abantu bonna abagala okwaniriza Bobi Wine bateekeddwa okusaba Poliisi olukusa mu buwandiike.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Owoyesigyire agamba nti Poliisi egenda kukwata abantu bonna abagala okumenya amateeka olunnaku olw’enkya.