Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde abavubuka mu bitundu bye Kamwokya obukadde 100 okwekulakulanya.

Ssente zino zeetikiddwa abakungu okuva mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe nga bakulembeddwamu Col Shaban Bantariza ku mukolo ogubadde ku Harvest Church, Kamwokya era zigabanyiziddwa mu ebibiina mukaaga.

Ebibiina 2 bifunye obukadde 30 buli kimu ate ebirala 4 obukadde 10 buli kimu.

Bino okuli Chamuka Youth Development Kamwokya (Obukadde 30), New Kamwokya Tax Drivers and Conductors Association (Obukadde 30), Kamwokya Women’s Twezimbe Group (Obukadde 10), Kamwokya Youth Bodaboda Group (Obukadde 10), Kamwokya Twegatte Development Association (Obukadde 10) ne Kamwokya Washing Bay Youth Group (Obukadde 10).

Col Bantariza amyuka omwogezi wa Gavumenti alabudde abavubuka abawangalira mu “Ghetto” okukomya okwenyigira mu bikolwa ebitayamba wabula okudda ku mirimu gyabwe okulwanyisa obwavu.

Pulezidenti Museveni ne Bobi Wine
Pulezidenti Museveni ne Bobi Wine

Mu bitundu bye Kamwokya, abavubuka bangi babadde bekalakaasa n’okuwagira omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine kuba tebalina mirimu kyoka okuvaayo kwa Pulezidenti Museveni okubayamba ne ssente okufuna entandikwa, kabonero akalaga nti agenda ku musanyawo Bobi Wine mu byobufuzi.