Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero, ekubirizibwa Lt Gen. Andrew Gutti yakusalawo oba ekiriza, omuyima w’akabinja ka Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta okweyimirirwa oba nedda.

Kitatta avunanibwa ne banne 12 emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka omuli emmundu, enkofira z’amaggye n’ebintu ebirala.

Mu kusaba okweyimirirwa, yawaayo ensonga ezenjawulo omuli ssemaka alina abakyala n’abaana bateekeddwa okulabirira, musajja mugonvugonvu nga yetaaga obujanjabi, alina amaka mu bitundu ebyenjawulo ageetongodde.

Mu kkooti yaleeta abantu basatu (3) omuli Sulaiman Walusimbi, Muhammad Kibirige ne Matovu Abu okumweyimirirwa.

Lt Gen. Andrew Gutti
Lt Gen. Andrew Gutti

Ssentebbe wa kkooti Lt Gen. Andrew Gutti wakwesigama ku nsonga ezo, okusalawo oba Kitatta amukiriza okwewozaako ng’ava mu makaage.

Kinajjukirwa nti sabiti ewedde, kkooti y’emu yayongezaayo okuwa ensala yaayo okutuusa olunnaku olwaleero nga 24, August, 2018 nga kivudde ku bannamateeka b’oludda oluwaabi, obutabaawo kwekeneenya okusaba kwa Kitatta.