Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okulaga eggwanga nti ebyobulimi n’okulunda, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa obwavu mu ggwanga lino.

Museveni agamba nti okulima n’okulonda kwetaagisa mu “ekibalo” n’okwagala.

Bw’abadde aggulawo ekifo waggenda okulundira ente, mu ffaamu y’e Rwakitura asobodde okweyambisa olungereza okutangaza ku nsonga eyo, “Today I opened a new paddock at my farm in Rwakitura after leaving it fallow for some months. My herd will feed on this fresh grass for several months. It is important to note that for farming to be a profitable enterprise, it must have a clear plan and specific calculations (ekibalo)”.