Gavumenti efulumizza entekateeka z’okujjaguza olunnaku lw’amefuga, olukuzibwa buli mwaka nga 9, October, 2018.
Okusinzira ku mwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, ku mulundi gunno, ebikujjuko bitwaliddwa mu ggoombolola y’e Kasasa mu disituklikiti y’e Kyotera.

Mungeri y’emu agambye nti nga Uganda ejjaguza okuweza emyaka 56 nga yefuze, emikolo gyakutambulira ku mulamwa, okujjaguza ebitukiddwako bukya twefuga mu 1962.
