Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yegumbulidde okufera abantu n’okutoloka mu buduukulu bwa poliisi obwenjawulo.

Tonny Kaddu atemera mu gy’obukulu 35 yakwattiddwa Poliisi y’e Ntinda ku by’okufera omukyala Masitulah Ankunda obukadde 400.

Ankunda agamba nti Kaddu yatwala ensimbi, ng’amusuubiza okumuguza ennyumba, ekintu kyatakola.

Poliisi era agamba nti Kaddu alina emisango egisukka 20 ku Poliisi mu Kampala, Mukono, Wakiso ne Jinja era abadde ayiggibwa ku by’okutoloka mu kaduukulu ka Poliisi ku CPS mu Kampala, Kampala mukadde (Old Kampala) ne Poliisi y’e Jinja.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.