Poliisi y’e Hoima ekutte abantu bataano (5) ku by’okukuba obutayambibwa ne banyaga abatuuze ebintu.

Abakwattiddwa amannya gasirikiddwa Poliisi kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza era bakwattiddwa mu kikwekweeto ku byalo ebyenjawulo omuli Kinuubi, Bujumbura, Kiryatete, Lusaka ne Kiganda mu ggoombolola y’e Bujjumbura.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo (Albertine) Julius Hakiza agambye nti abakwate baasangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli obutayimbwa, ebijjambiya, emiggo, obwambe era akawodde abatuuze okuvaayo okuleeta obujjulizii kiyambeko Poliisi okutwala abakwate mu kkooti.