Mu nsi yonna, akaboozi mpagi nkulu nnyo mu kuwangaza omukwano eri abaagalana wadde abamu ku basajja bafuna obuzibu okumatiiza baganzi baabwe.
Naye twebuuza olabira kuki nti omukyala ayoya waaya (akaboozi)?
Aweereza munne obubaka obw’omukwano wadde buyinza okuba nga tebisaba kaboozi. Ekyokulabirako ayinza okuweereza ebifaananyi bye ng’ayambadde engoye eziraga ebitundu by’omubiri asobole okukusikiriza n’okufuna obwagazi bw’akaboozi.

Alaga okufaayo okw’enjawulo eri omwagalwa we era omusajja atageera omukwano asobola okusoma sigino.
Omubiri gwe guba gubuguma mu ngeri ey’enjawulo era bw’omukwatako mu mbugo abeera atobye, wadde aba tannaba kwegatta era nga tewali amukutteko, ekiraga nti mwetegefu okulambuza ebyalo.
Abamu abeera yeekukuutiriza ku mwami we buli kiseera nga tayagala kumuva ku lusegere kuba aba aswakidde nga yetaaga waaya okukakana.