Kyaddaki eyali ssenkagale w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Gen Mugisha Muntu ayogeddeko eri eggwanga enkya ya leero omulundi gwe ogusokedde ddala oluvanyuma lw’okwabulira ekibiina kya FDC ku lunnaku olwokubiri.
Gen Muntu mu kwogera kwe ku Hotel Africana atongozza ekisinde ekitumiddwa “New Formation” ekigenda okukweyambisibwa okutukiriza ekigendererwa kyabwe.
Agamba nti okugenda kwe, kwandibadde kuwa essannyu, bannakibiina kya FDC okutukiriza ekirooto kyabwe era asuubiza (Muntu) okweyambisa ekibiina kyabwe ekipya, okugata abantu bonna, abaagala enkyukakyuka mu ggwanga lino.
Mungeri y’emu agambye nti, wadde bavudde mu FDC, enkolagana nnungi ekyaliwo okuteesa kwebyo ebiyinza okuyamba eggwanga lino.

Muntu agamba nti y’essaawa, okutabaala eggwanga lyona okutegeeza bannansi ekigendererwa kyabwe n’okuwandiisa abantu bonna abaagala okubegatako.
Gen Mugisha Muntu era akaatiriza nti okuzimba omusingi kye bagenda okutandikirako okufuna abantu abayinza okubegatako bakulaakulanye ekibiina kyabwe n’okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Asuubiza, okulangirira byona ebikwata ku kibiina kyabwe n’omulamwa obutasukka nga 25, Desemba, 2018.
Ku mbeera eri mu ggwanga, Gen Muntu agambye nti bannansi bali mu maziga nga batekeddwa okwegata okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lyabwe, okuyambako okulongosa ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi n’okutebenkeza ebitongole ebikuuma eddembe okuli Poliisi n’amaggye okuwereza bannayuganda bonna.
Muntu agamba nti obuyinza bw’abantu ky’okuyinza okuyita “People Poper” bateekeddwa okuzikozesa okutukiriza ekigendererwa kyabwe.

Ku Hotel Africana, Muntu yagattiddwako abantu abenjawulo omuli eyali akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu paalamenti Winnie Kiiza, omubaka we Ntungamo Gerald Kaluhanga, amyuka omwogezi w’ekibiina kya FDC era omubaka we Jinja East Paul Mwiru, Omubaka we Kisoro Elijah Okupa, omubaka omukyala we Soroti Angelina Osege, munna NRM Gafa Mbwatekamwa akikirira abantu be Kasambya North, John Baptist Nambeshe owe Manjiya n’abalala.
Ate Muntu abadde awerekeddwako munne webavudde mu kibiina era yaliko omuwandiisi w’ekibiina kya FDC Alice Alaso.
Awakanyiza ebigambibwa nti abadde mukessi mu kibiina kya FDC okuva mu kibiina kya NRM.
Muntu agamba nti yakoma okwogera n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni bwenyi ku bwenyi mu 2004.

Wabula Pulezidenti w’ekibiina kya FDC, Patrick Oboi Amuriat alabudde nti omubaka yenna atakiririza mu kibiina waddembe okukyabulira kuba simwetegefu, kukiriza abantu abalina enkwe, okusigala mu kibiina kyabwe okubalemesa okutambuza emirimu.
Abamu ku babaka, abanokoddwayo nti bateekateka okwabulira FDC mulimu Winnie Kiiza, Elijah Okupa, Robert Centenary, Paul Mwiru, Francis Gonahasa, Angelline Osegge, Lucy Akello, Akol Anthony, Kasozi Ibrahim, Abdu Katuntu, Cecilia Ogwal, Morris Ogenga Latigo, Oyet Simon, Betty Muzanira ne Nabillah Naggayi Ssempala n’abalala.