MODO Omutanzania, Hamisa Mobetto abikudde ekyama lwaki yasalawo okuzaalira omuyimbi Diamond Platnumz omwana.
Mobetto abadde ku laadiyo Citizen mu ggwanga erya Kenya, akakasiza nti ye yali amaliridde okugabana omusajja ne Zari Hassana.

Agamba nti omusajja Platnumz era alina eddembe okuwasa abakyala abasukka mw’omu kuba Musiraamu era eddiini emukiriza okuwasa abakyala 4 era ne bba wabwe (Platnumz) yakirizza.

Mu lungereza, Mobetto agambye bwati “I asked him if he could have both of us and he said Islam could allow him marry many women”.
Omukyala Mobetto agamba nti wadde Zari yalina abaana, yalina okusigala mu maka kuba omusajja yenna ateekeddwa okusajjalaata.
