Omubaka we Kyadondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne banne 34 enkya ya leero basuubirwa okweyanjula mu kkooti esokerwako Gulu mu maaso g’omulamuzi Yusuf Ndiwalana.
Bobi Wine ne banne okuli omubaka wa Munisipaali y’e Arua, Ezati Kasiano Wadri, owa Jinja East- Paul Mwiru, Gerald Karuhanga owa Ntungamo, n’eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, n’abalala, bagulwako omusango ogw’okulya mu nsi olukwe nga basinzira kwebyo ebyali mu bitundu bya Arua, nga 13, August, 2018, ebyavirako emu ku mmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okukubwa amayinja, endabirwamu neyiika mu kiseera nga bakomekereza okuwenja akalulu, Kasiano Wadri okuwangula eky’omubaka wa Paalamenti mu kibuga Arua.

Bobi yasooka kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye e Gulu ku bigambibwa nti yasangibwa n’emmundu bbiri n’amasasi, munda mu kisenge kya woteeri mwe yali asula mu kibuga Arua, kyokka oluvannyuma emisango gino gyamuggyibwako era n’ayimbulwa.
Oluvannyuma, Poliisi yaddamu n’emukwata okugatibwa ku banne ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Gulu Stephen Mubiru, yabakiriza okweyimirirwa kyoka n’abalagira nti bateekeddwa okweyanjula mu kkooti esokerwako e Gulu.
Wabula okusinzira ku munnamateeka wabwe Medard Lubega Sseggona, olunnaku olwaleero, abamu ku bavunanibwa bayinza obutagenda mu kkooti kuba bakyalina obuvune omuli Atiku Shaban omuyambi wa Kassiano Wadri ali mu ddwaaliro n’omubaka we Mityana Francis Zaake Mutebi.
Olunnaku olwaleero, oludda oluwaabi lwakutegeeza omulamuzi Ndiwalana webatuuse mu kunoonyereza.
Mungeri y’emu munnamateeka Henry Kilama, ategezeza nti olunnaku olwaleero, bagenda kuteekayo okusaba, okweyimirirwa kanyama wa Bobi Wine Edward Sebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe n’omukozi Musa Ssenyange abali ku musango gw’okulya mu nsi olukwe.