Bya Zainab Ali

Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bawadde omukisa ababaka ba Palamenti bonna mu kibiina kyabwe, abagala okutambulamu okwegata Gen Gregory Mugisha Muntuyera amanyikiddwa nga Mugisha Muntu okugenda okusinga okubesibako n’okusigaza abantu ab’enkwe.

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina, Ibrahim Ssemujju Nganda, FDC kibiina kirina omusingi era wadde Gen Muntu yagenze, kyakweyongera okugenda mu maaso n’okutambuza emirimu gyayo mu ggwanga.

Bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku kitebe e Najjanankumbi enkya ya leero, Ssemujju agambye nti ” FDC terina tteeka lyona okulemesa membe okugenda eri buli ali mu kibiina waddembe okugenda okusinga okusigala mu kibiina okubalemesa okutambuza emirimu”.

Gen Muntu
Gen Muntu

Mungeri y’emu Ssemujju agambye nti ekibiina kya FDC kibaddeko n’abantu abamaanyi abavudde mu kibiina, abamu bafudde kyoka ekibiina kikyaliwo, ekiraga nti kirina obuwagizi.

Gen Muntu yalangiridde nti avudde mu FDC sabiti ewedde era yasuubiza okulangirira ekibiina kye, obutasukka 25, Desemba, 2018.

Kinnajjukirwa nti ne minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe yali mu FDC, olw’obutakaanya navaamu.