Ekitongole ky’amagye ekikeesi ekya Chieftaincy Military Intelligence [CMI] kikutte abantu bangi ddala, abateeberezebwa okwenyigira mu kutta eyali adduumira Poliisi y’e Buyende, Afande Muhammad Kirumira eyattibwa nga 8, September, 2018.
Ekyama ekyo, kibikuddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni bw’abadde asiima ekitongole ekyo, okulemberamu okuyigga abatemu.
Museveni asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza Bazukulu, nti mu kikwekweeto, omusajja Abdu Kateregga yakubiddwa ebyasi, ebyaviriddeko okufa kwe kyoka bonna abakwattiddwa essaawa yonna, bagenda mu kkooti.
Mungeri y’emu agambye nti Kateregga wadde yattiddwa, y’omu ku basajja abaali mu kabinja kabatujju aka ADF abasonyiyibwa, gye buvuddeko.
Yoweri Museveni awanjagidde bannayuganda okuvaayo okulwanyisa ekibinja ky’abatemu nga bategeeza poliisi ku buli nsonga yonna.

Ku Face Book, agambye bwati ”
Countrymen , Countrywomen and Bazukulu
I am sure I am speaking on behalf of many of you when I congratulate the CMI squads which arrested a number of suspects in the killing of ASP Kirumira on Friday night. Quite a number of them will appear in court soon. In the process, one of them, by the names of Kateregga Abdu, was shot and later died of his injuries. It turns out that Kateregga was one of the ADF terrorists that had benefited from Amnesty in the past. This, therefore, is to put on notice all the killers that the wages of sin is death ( Romans 6:23 ).
Members of the public that may have some more information about this particular gang of Kateregga should inform the police”.