Poliisi ezinzeeko amaka ga Edith Byanyima mwannyina wa Winnie Byanyima mukyala wa Dr Kizza Besigye mu bitundu bye Muyenga enkya ya leero.
Sarah Eperu, Mwogezi w’abakyala mu Forum for Democratic Change (FDC) agambye nti abasirikale abasukka 40 beebulunguludde amaka ga Edith Byanyima era balemeddeko okwekebejja ennyumba yonna.
Mungeri y’emu agambye nti tebanamanya nsonga yonna lwaki amakaage gasaliddwaako Poliisi.
Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire asabye okuweebwa obudde okusobola okwekeneenya ensonga eyo.