Kyaddaki mukyala wa Dr Kizza Besigye Winnie Byanyima atabukidde Poliisi oluvannyuma lw’okuzingako amaka ga muganda we Edith Byanyima enkya ya leero.
Poliisi ekedde kuzingako amaka ga Edith Byanyima mu bitundu bye Muyenga B era esobodde okwekebejja ennyumba yonna.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire agambye nti Poliisi erina olukusa okwekebejja ennyumba y’omuntu yenna singa bagyekengera.
Oweyesigyire era agambye nti okwekebejja ennyumba ya Edith Byanyima bazuddeyo ebintu ebyenjawulo, byagaanye okwatukiriza kyoka omukyala (Edith), takwatiddwa asigadde mu makaage e Muyenga.

Wabula Winnie Byanyima agambye nti amyuka adduumira Poliisi mu ggwanga yeeyalagidde Poliisi okwekebejja amaka ga Edith.
Mungeri y’emu agambye nti Edith abadde ateeberezebwa okulemberamu okubunyisa obusaati bwa People Power era abadde ayungiddwa okuba omu kwabo abatambuza ekisinde ekyo ekya People Power.

Ku mukutu ogwa Twitter, Winnie Byanyima agambye bwati, “We understand that the Deputy IGP ordered the search. We’ve also learnt that Edith is suspected to be distributing People Power T-Shirts. I know Edith has been energised by the People Power Movt. If she is safe, she’s probably happily defiant!”.