Poliisi y’e Mukono ekutte abantu 4 ku by’okubba ebintu okuva mu nyumba y’omugagga.
Abakwattiddwa kuliko omusirikale Charles Tumusiime nga dereeva w’amyuka akulira ekitongole ekikesi (Crime Intelligence Directorate) Charles Asaba n’abakyala 3 okuli Zalwango Lindah, Nakimbugwe Kevina ne Mubenja Brendah.
Kigambibwa Zalwango ali mu mukwano n’omusajja Julius Kawooya awangalira mu ggwanga erya Sweden era yasobodde okupaanga n’abakyala banne n’omusikale Tumusiime okusobola okumenya ennyumba ya muganzi we okubba ebintu.
Banno balumbye amaka g’omugagga Kawooya ne bateeka omukozi ku mudumu gw’emmundu Brain Kasule ne banyaga ebintu nga batikka ku mmotoka yabwe ekika Double Cabin namba UAZ 640Q, Poliisi weyabakwatidde.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti abakwate bakuumibwa ku Poliisi y’e Mukono ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.