Kkooti enkulu mu Kampala egyewo ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 2, ekyali kiwereddwa Brian Isiko.
Isiko atemera mu gy’obukulu 25, muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja, yasingisibwa emisango ebbiri (2) omuli okusindiika obubaka obukyamu eri omubaka omukyala owe Kabarole Sylvia Rwabwogo atemera mu gy’obukulu 42.
Omubaka Rwabwogo yafuna obubaka obwenjawulo ku ssimu ye nga Brian Isiko amwepikira nti omukyala omulungi nnyo era amusaba amukirize bafuuke ab’omukwano kuba ky’ekirooto kye.
Omubaka Rwabogo yaduukira mu kkooti era omulamuzi Gladys Kamasanyu owa Buganda Road namusindiika Isiko e Luzira okumala emyaka 2 lwa kusindika obugambogambo obutisatiisa omubaka Rwabogo.

Wabula Isiko ng’akulembeddwamu munnamateeka we Ramathan Waiswa okuva mu Alaka and Company Advocates, yadduukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya, eky’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Kamasanyu okumusalira ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 2 ate ng’emisango gyonna egyamugulwako, yagyegaana.
Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti enkulu Jane Francis Abodo alagidde omusango gwa Isiko guddemu okuwulirwa n’omulamuzi omulala mu kkooti ya Buganda Road.
Mungeri y’emu Isiko agiddwako eky’okusibwa emyaka ebbiri (2) olw’omulamuzi Kamasanyu okumusalira ekibonerezo ng’emisango yali agyegaanye, ekintu ekimenya amateeka.
Omulamuzi era agambye nti Isiko teyaweebwa mukisa kwewozaako nga n’omulamuzi Kamasanyu yasalawo ng’asinzira ku bujjulizi bwa muntu omu yekka.
Omulamuzi alagidde Isiko okumuzaayo ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga kkooti erangiridde olunnaku okuddamu okuwuliriza omusango gwe.