Poliisi y’e Luweero ekutte Paasita omugundivu ne banne 3 ku by’okutta omwana wa myezi 5.
Paasita Viola Nassanga omutuuze ku kyalo Lukyamu mu ggoombolola y’e Butuntumula yakwattiddwa ne banne okuli omuyambi we Juliet Nakayenga, Edith Nabuule ne landlord Lazaro Walakira era bateekeddwa mu kaduukulu ka Poliisi e Luweero.
Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Benson Byaruhanga, Paasita Nassanga yasaba omukyala Asineyi Biira, okuwaayo omwana we Anita Kwagala okumusabira, okusimatuuka endwadde ezimutawaanya.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, omulambo gw’omwana, gwasangiddwa mu nnyumba Paasita gye yali yapangisa, nga gutandiise okuvunda, oluvanyuma lwa sabiti namba.
Maama, agamba nti amangu ddala ng’omwana afudde, Paasita yamugumya nti alina amaannyi okuzukiza abafu, era abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebbe wabwe, bebasobodde okuteegeza ku Poliisi.
Omulambo, gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kasana oluvanyuma gutwalibwe mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.