Poliisi erwanyisa abazigu ab’emmundu (Flying Squad) ekutte abavubuka babiri (2) ku by’okubba number plates ku mmotoka mu bitundu bye Masaka.

Abakwattiddwa kuliko Sulaiman Sentamu ne Brian Muyanja era bakuumibwa mu kaduukulu ka Poliisi ku CPS (Central Police Station) e Masaka.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka Lameck Kigozi, abakwattiddwa babadde batigomya abatuuze mu bitundu okuli Lyantonde, Kyazanga, Mbirizi, Kiwangala ne ggoombolola y’e Masaka.

Mu kikwekweeto, bazudde number plates 5 okuli UAU 238Z, UAK 242M, UBA 010W, UAK 242M n’endala.