Omukyala Zari Hassan aweereddwa omulimu omutongole mu kibiina ky’omugagga Bryan White ekimanyiddwa nga Bryan White Foundation.

Zari agenda kulemberamu kampeyini y’okulwanirira abaana abawala etuumiddwa “Help A Girl Child” mu ggwanga lino Uganda wansi w’ekibiina ekya Bryan White Foundation.

Zari n'omugagga Bryan White
Zari n’omugagga Bryan White

Bw’abadde alangirira mu butongole kampeyini emuwereddwa, agambye nti asazeewo okuyamba abaana abawala n’okubulula abavubuka mu bwavu kuba ayagala nnyo eggwanga lye.

 Omugagga Bryan White, Zari n'abakozi mu Bryan White Foundation

Omugagga Bryan White, Zari n’abakozi mu Bryan White Foundation

Ku mukutu ogwa Instagram, Zari agambye bwati “I am proud to be part of your movement-Awakening the youth from poverty. We are soon introducing ‘Help a Girl Child Project’ coordinated by myself. It’s for the love of my country”.