Poliisi mu Kampala ekutte abasajja 52 n’abakyala babiri (2) ku by’okufera n’okubba abantu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwattiddwa babadde basukkiridde okusindiika obubaka ku massimu g’abantu nti bawangudde ebirabo ebyenjawulo n’ekigendererwa eky’okubabba.

Owoyesigyire agamba nti abakwattiddwa, babadde beeyambisa “Mobile Money” nga basindikira abantu nti bawangudde ssente kyoka oluvanyuma ne basaba enamba y’ekyama (Pin Code) okubba ssente zonna ku ssimu esindikiddwako obubaka.

Kiteberezebwa nti abamu ku bantu abakwattiddwa bakolagana n’abamu ku bakozi mu kampuni z’empuliziganya okubba abantu ssente era okunoonyereza kutandiise.
Owoyesigyire agamba nti bonna abakwattiddwa bakutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga bakomekereza okunoonyereza.

