Abayimbi okuli A Pass ne Fik Fameica nga beegatiddwako muyimbi munabwe omukyala Rouge okuva mu ggwanga erya South Africa bafulumiza oluyimba olutumiddwa “Midnight Drum”.
Kigambibwa oluyimba baalukwatidde mu situdiyo ya Swangz Avenue oluvanyuma lwa Rouge okuggya mu Uganda omwezi Ogwokuna nga ne Polodyusa DJ Maphorisa okuva mu South Africa y’omu kwabo abateseteese oluyimba olwo.
Okusinzira ku A Pass ne Fik Fameica, basuubira vidiyo okufulumizibwa omwezi gunno ogwa October, 2018.