Omuyimbi Ykee Benda alangiridde olunnaku lwa konsati ye mu Kampala March, 29, 2019.

Konsati yakubeera ku Serena Hotel mu Kampala era etumiddwa “The Kireka Boy Album Launch”.

Ykee Benda amanyikiddwa nnyo olw’ennyimba ze omuli Byonkola, Kyenkyebula, Superman, Onabaayo, Time Table, Kajjambo, Amina, Farmer, Sweet Love n’endala.

Ku lwa Konsati, Ykee Benda agambye nti agenda kukola ekyenjawulo okukyamula abawagizi be kuba asobodde okwetekateeka obulungi.