Omuyimbi Spice Diana myaka 22 asabbalaza abasajja ku mukutu ogwa Instagram era abamu bakiriza nti omwana alina “Work”.
Spice y’omu ku bayimbi abakyala abasobodde okuyamba okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Anti Kale, Ndi mu Love, Bwebityo, Onsanula, Ssente Zakamezza, Thirty Two, Asipolo n’endala.

Ku Instagram, yataddeyo ekifaananyi ng’ali ne mukwano gwe era bangi ku basajja bakiriza nti omwana atukula olususu.
Abamu bagambye nti Spice y’omu ku bawala abato abalabika obulungi mu kisaawe ky’okuyimba wadde omusajja amufukirira tamanyiddwa.

