Kyaddaki mwana muwala Zari Hassan abikudde ekyama lwaki y’omu ku bakyala abasobodde okukola ennyo okwetusaako kyebetaaga.
Zari wadde yafuna obutakaanya ne bba Diamond Platnumz oluvannyuma ne bawukana wadde balina abaana, asobodde bulungi okweyimirizaawo ng’omukyala.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza nti omuntu yenna okulwanyisa embeera embi, ateekeddwa okukola ennyo n’okuba n’ekigendererwa buli lunnaku, “Wake up every day and commit to yourself to becoming a better person. Good morning“.

Ebigambo ebyo, bangi ku bagoberezi ba Zari, bagambye nti avuluze eyali bba Platnumz era kabonero akalaga nti teyegomba kudda mu bufumbo.

Kimanyiddwa nti Zari y’omu ku bakozi b’omugagga Kirumira Brian amanyikiddwa nga Bryan White mu kibiina ekya Bryan White Foundation era yawereddwa omulimu okulemberamu okukyusa obulamu bw’abaana abawala mu ggwanga lyona Uganda.