Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni aguddewo ekifo, ebitongole ebikuuma eddembe w’ebigenda okusinzirira, okwekeneenya n’okulondola Kamera, eziteekeddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Ekifo kizimbiddwa ku Poliisi empya e Nateete, era ku Kamera 150, eziteekeddwa e Lungujja, Kampala mukadde, Rubaga, Kasubi, Kawaala, Kabowa, Natete, Mutundwe,  Mukulu Museveni bamulazeeko Kamera 122 engeri gye zikolamu emirimu era avuddeyo amatidde.

Yoweri Kaguta Museveni
Yoweri Kaguta Museveni

Bw’abadde agulawo ekifo, Museveni agambye nti kamera zigenda kuyambira ddala mu kwongera amannyi mu kunoonyereza, okutangira emisango n’okulwanyisa abazzi b’emisango.

Poliisi egambye nti kamera, zigenda kuyamba nnyo okulungamya ebyentambula, okulwanyisa obubbi, obutemu, obutujju n’emisango emirala.

Kampuni ya Bachaina emanyikiddwa nga Huawei yekulembeddemu okuteeka kamera 5,552 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo era ekitebe ekikulu,kigenda kuzimbibwa ku kitebe kya Poliisi e Naguru.

Pulezidenti Museveni oluvudde e Nateete, ayolekedde Kyotera ku mukolo gw’amefuga.