Aba famire y’omubaka wa munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake Butebi basigadde batangadde, Poliisi bw’elinnye eggere mu ntekateeka y’okwaniriza omuntu wabwe enkya ya leero, okuva mu ggwanga erya Buyindi, gyabadde yagenda okufuna obujanjabi.
Omubaka Zaake atuuse ku kisaawe Entebbe ku ssaawa 1:40 ez’okumakya era Poliisi emuggye ku nnyonyi nemutwala mu kifo ekitamanyiddwa.
Poliisi tekiriza mukyala wa Zaake, Bridget Namirembe wadde munnamateeka we Asuman Basaalirwa okwaniriza omuntu wabwe.
Munnamateeka Basaalirwa avumiridde ekikolwa kya Poliisi okuwamba omuntu wabwe era batandiise okunoonyereza Zaake gyatwaliddwa kuba kiteberezebwa atwaliddwa mu makaage e Mityana oba Gulu, kkooti gyetuula ku misango egimuvunanibwa egy’okulya mu nsi olukwe.
Basaalirwa era agambye nti Zaake okuwambibwa n’okusaba okwabadde kutegekeddwa okusabira omuntu wabwe, kuyinza okuyimirizibwa.
Oluvanyuma kitegerekese nti Zaake, olumuggye ku kisaawe Entebbe, atwaliddwa mu maka ga kitaawe e Mityana.

Omubaka Zaake, abasawo abakugu basobodde okumujjanjaba omutwe, obulago n’embirizi bye yagenda bimuluma ennyo era bamutegeeza nti embeera gy’alimu tetiisa era asobola okudda okutambuza emirimu gye.
Abasawo bamulagidde addeyo mu ddwaaliro e Buyindi oluvannyuma lw’emyezi mukaaga bongere okumwekebejja.
E Buyindi amazeeyo omwezi gumu n’ekitundu kyoka wadde akomyewo, ebyokwerinda ku kisaawe Entebbe ne ku luguudo lw’Entebbe, bibadde byabuligyo okusinga bwe gwali ng’omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akomawo omwezi oguwedde nga n’abamu ku bantu baafuna ku kibooko.