Olukiiko olukulembera ekisaawe kye Namboole luyimiriza ekivvulu ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Kinnajjukirwa nti Bobi Wine yalangirira konsati y’oluyimba “Kyarenga” nga 20, October, 2018 mu kisaawe e Namboole amangu ddala ng’akomyewo okuva mu ggwanga erya America gye yali yagenda okufuna obujanjabi ku bisago ebyamutusibwako mu bitundu bya Arua.

Wabula Jamil Ssewanyana Mpagi akulira ekisaawe kye Namboole agambye nti ekisaawe bakipangisa dda era balina emikolo gya mirundi ebbiri (2) mu nnaku z’omwezi z’ezimu Bobi Wine kweyalangirira ekivvulu.

Mpagi agamba nti okuva nga 15, October, okutuusa nga 26, October, 2018 balina omusomo gw’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’okuduuka ekya Uganda Athletic Federation ate nga 20, October, 2018, balina omukolo gw’embaga mu kisaawe e Namboole.

Ku nsonga eyo, Mpagi agambye nti basobodde okutegeeza  abakuliddemu okutekateeka ekivvulu omuli Yasin Kaweesi okufuna olunnaku olulala kwebasobola okuteeka ekivvulu kyabwe.